OKUSENGULA ABALAALO: Gavumenti etaddewo nsalessale wa nnaku 14, abalaalo baanukudde
Ab'ekibiina ekigatta abalaalo abali mu bitundu by'omumambuka ge ggwanga baagala kwogerezeganya ne gavumenti gye bagamba nti yabaguddeko bwe yabawadde nsalessale wa nnaku 14 zokka okwamuka ekitundu ky'omumambuka. Nsalessale ono yayisiddwa Minisita omubeezi ew’ensonga z’amambuka ga Uganda Dr. Kenneth Omona olunaku lw'eggulo bwe yaategezezza nga kalusu bwe yaweddewo nga kyekiseera abalaalo bonna bakwatemu ebyabwe badde gyebava.