NUP egamba ekiwandiiko ky’amagye kigendereddwamu kubanafuya
Bannakibiina ki NUP bavudemu omwaasi ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa amaggye olunaku lw’eggulo nga kitegeeza ekibiina kino bwekirina enteekateeka y'okwenyigira mu bikolwa by'okwagala okumaamulako gavumenti nga kiyita mu bikolwa by'ekitujju. Omwogezi wa NUP era nga yakulira oludda oluvuganya gav’t Joel Ssenyonyi ategezeza nga kino bwekigenderedemu okunafuya oludda oluvuganya nadala nga akalulu ka 2026 kabindabinda.