Kitaawe w'omwana eyakubwa essasi talina ssente zimujjanjabisa
Waliwo omuzadde alaajana nga ayagala bwenkanya oluvannyuma lw’omwana we ow’emyaka 12 okukubwa amasasi omuntu eyali atambulira mu mmotoka ey’ekika kya Toyota Harrier nga 31 December, 2024. Omwana ono yali ne kitaawe mu takisi nga badda ka oluvannyuma lwa kitaawe okumutwalako ne muto we mu kibuga bakyakaleko nga omwaka tegunnaggwaako.Kyokka poliisi ekakasizza nga bwe yakutte omusajja eyakuba omwana amasasi n’ategeeza nti yali akuba babbi.