Mao agamba poliisi si yaakukwata mmundu mu kulonda
Nobert Mao nga ye minisita w'ebyamateeka agamba nti emivuyo egizze girabikira mu kulonda mu ggwanga ginogeddwa eddagala okuli ebyuma ebineeyambisibwa mu kulonda nga bino bitangaaza amaaso n’ebinkumu byoyo abeera alonze. Agamba n'amagye si gaakuleetebwa mu bifo awalonderwa nga ne poliisi si yakubeera na mmundu okuggyako we kyetaagisa, n'ebirala.Bino bibaddewo mu nsisinkano ya bannabyabufuzi, minisitule y’ebyamateeka n’akakiiko k’ebyokulonda.