Minisita Nabakooba atandise okutalaaga ebitundu by'e Mutyana okugonjoola ensonga z'ettaka
Minisita w'eby'ettaka Judith Nabakooba atandise okutalaaga ebitundu by'e Mityana okugonjoola ensonga ez'enjawulo ezeekuusa ku ttaka. Ono yatandikidde mu ggombolola lye Butayunja ne Maanyi abatuuze gye bamuloopedde abantu ababagobaganya ku ttaka kko nensonga endala ezibali obubi omuli n'obutaganyulwa mu nkola za gavumenti ez'okwekulaakulanya