Minisita Sam Mayanja atongozza enkola y’ebyapa bya digito
Mukawefubbe wokulwanyisa ekibba ttaka nokumalawo okujingajinga ebyapa mu ggwanga, Minisita omubeezi akola ku nsonga z'ettaka Sam Mayanja ategezezza nga bwe balese enkola y'ebyapa ebya digital. Okwogera bino, Mayanja abadde aggalawo omusomo Gwabakozi bagavumenti abavunanyizibwa kunsonga Zokugaba ebyappa e Munyonyo. Mayanja agamba enkola Eno yakumalawo obukuluppya ku ttaka naddala ababadde bagaba ebyapa ebisukka mu kimu ku ttaka.