MOTOKA Z’AMASANNYALAZE: Gav’t etaddewo ebifo omuli ‘Charger’
Abakozesa mmotoka z’amasanyalaze naddala mu Kampala n’emirirano baakufuna ku buweerero oluvanyuma lwa gavumenti okutandika okuteekawo ebifo awacaagingirwa mmotoka zino. Era tutegeezeddwa nti ssi waakuberawo nsimbi za ssalira ku mmotoka ezinaacagibwa wabula omuvuzi wa mmotoka ajja kusasula okusinziira ku bungi bw’amasanyalaze mmotoka ye g’ekozesezza.