Mufti wa Uganda Sheikh Ramathan Mubajje asabye gavumenti ya kuno ewere omukutu ogwa Tiktok
Mufti wa Uganda Sheikh Ramathan Mubajje, asabye gavumenti ya kuno ewere omukutu ogwa Tiktok, gwagamba nti gujjuddeko abantu abagukozesa obubi omuli n'okusiga obukyayi n’agamba mbu guno mubi nnyo n’okusinga ogwa facebook gavumenti gweyawera. Okwogera bino Mubajje abadde akulembeddemu okusaala Eid El Fitr ku muzikiti gwa OLD KAMPALA nga kuno kwetabiddwaako nnamungi w'abakkiriza. Aba Uganda Muslim Supreme Council nabo basiinzidde mu kusaala kuno ne bakkaatiriza nga bwe baagoberera amateeka mu kulonda obukulembeze ogujja.