Museveni ayozaayozezza Joshua Cheptegei, e Sebei baasuze mu bbinu
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni akulembeddemu abakungu abalala mu gavumenti okuyozaayoza Munnayuganda Joshua Cheptegei olw'okuwangula omudaali gwa zzaabu mu mbiro eza mita 10,000 mu mpaka za Olympic eziyindira mu maaso mu kibuga Paris mu Bufalansa. Cheptegei nga wa myaka 27, embiro zino yaziddukidde eddakiika 26 ne sikonda 43 n'obugwamu 14 n'ateekawo likoda empya mu mizannyo gya Olympic ebadde tebangawo. Cheptegei gy'azaalwa mu bitundu by'e Sebei abatuuze bakyajaganya olw'obuwanguzi omwana waabwe bwe yatuuseeko era bali mu kuyisa bivvulu na kulya bittafuttafu mu district okuli Bukwo, Kapchorwa ne Kween eziri mu kitundu kino.