NEMA ekutte aba china 9 nga ebalanga kusima musenyu mu mugga Katonga
Ekitongole ki NEMA nga kiyambibwako binnaabyo bakoze ekikwekweto mwebakwatidde aba china 9 nga bano balangibwa kusima musenyu mu mugga Katonga. Bano basangiddwa basimye omusenyu wakati mu mugga ekimenya amateeka, era kyebakoze kwekuwamba ebyuma byebabadde bakozesa okusima omusenyu.