Wabaluseewo ebibuuzo ku ngeri poliisi gyeyasseemu abantu 6 eggulo abagambibwa okuba ababbi
Wabaluseewo ebibuuzo ku ngeri poliisi gyeyasseemu abantu 6 olunaku lw’eggulo abagambibwa okuba ababbi - bano baakubiddwa amasasi agaabajje mu bulamu bw'ensi e Kamwokya mu Kampala. Abaabaddewo bagamba bano basoose kukwatibwa n’oluvanyuma nebakubibwa amasasi ekintu abangi kyebawakanya nti kikontana n’amateeka agafuga eggwanga lino. Munnamateeka atubuulidde nti omulimu gwa poliisi mu mbeera eno singa omuntu abeera akkiriza okukwatibwa okumukuba amasasi okumutta kikyamu nga banditwaliddwa mu kkooti bavunaanibwe.