Eklezia e Mukono etubidde n’omuwala atayogera ow’emyaka 17
Waliwo omuwala ategerekese nga Christabel Namazzi eyabula ku b’engandaze kati okumala omwezi mulamba. Omuwala ono tayogera wabula nga byonna ebimukwatako abiwandiika buwandiisi. Kigambibwa nti waliwo emmotoka gyebamuteekamu nebabaako eby’okulya byebaamuwa ekyamuviirako obutaddamu kutegeera bigenda mu maaso. Kati ono akuumirwa mu kiggo ky’eklezia ya St. Paul e Mukono.