Abazadde e Kasese basobeddwa oluvanyuma lw’omuyaga okubambula amabaati ku bizimbe by'essomero lyabwe
Abazadde ku ssomero lya Ibuga Primary School e Kitswamba e Kasese basobeddwa oluvanyuma lw’omuyaga okubambula amabaati ku bizimbe by'essomero lyabwe. Kati balina okutya nti singa tewabaawo kikolebwa abaana baabwe bakubulwa webasomera nga okusoma kuzzeemu. Kati basaba gavumenti eveeyo ebadduukirire.