E Kikuube, omusajja ow'emyaka 77 agobebwa ku ttaka lyagamba lyeyagula mu 1997
E Kikuube, ku kyalo Kamugamba eriyo omusajja Jackson Mubone agobebwa ku ttaka lyagamba lyeyagula mu mwaka gwa 1997. Ettaka eryogerwako liri kubugazi bwa yiika 200, nga bagamba namwandu w’omugenzi Brig. Gen. David Kaboyo alumiriza nti ettaka lino lirye.