Enguumi enyoose e Bussi nga bafulumya Ssentebe w’ekyalo mu wofiisi y’ekitongole ky’abaana
Wabaddewo okulwanagana ku kizinga Bussi, bakanyama bwe babadde bagoba Ssentebe w’e kizinga kino mu wofiisi z’ekitongole ki Hope for the Island Child ky’abadde akwanaganya nga bannyikyo bamuvunaana okubulankanya ebintu n’ensimbi ezibadde ziweerezebwa okuva mu bavujjirizi. Ssentebe ono Charles Mukalazi kkooti ebadde yamulagira dda okwamuka wofiisi z’ekitongole kino neyeerema. Poliisi etubuulidde nti ekutte abavubuka babeereko byebanyonyola.