Gavumenti eri mu nteekateeka ya kukyusa mbeera y’abaana gyebasomeramu basobole okukula n’empisa
Gavumenti wansi wa minisitule ya tekinologiya yakukyusa embeera y’abaana gyebasomeramu basobole okukula n’empisa, kisobozese okugonjoola emizze egyeyongera mu ggwanga. Bano bagamba kyenyamiza okuba nga omuwendio gw’abavubuka gweyongera buli lukya, wabula nga emizze n’enneyisa mu ggwanga byongera kwonooneka, nga bakakafu nti abaana bwebatandikibwa okuteekebwatekebwa mu nsoma yaabwe, bino byandifuuka lufumo.