Enkalu zibadde mu kkooti y'amagye e Makindye nga ba puliida ba Besigye battunka n'oludda oluwaabi
Enkalu zibadde mu kkooti y'amagye e Makindye nga bapuliida ba DR. Kizza Besigye ne munne Obeid Lutale battunka n'oludda oluwaabi naddala ku ky'okuwozesa mu kkooti eno. Wadde nga bafubye okumatiza kkooti eno ssentebe wa kkooti y’amagye akalambidde nga bano bwebalina okuwozesebwa mu kkooti eno.