Ssenyonyi asambazze eby’ogerwa nga ababaka ba palamenti ab’omulundi guno bwebali ab’ekibogwe
Akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti Joel Ssenyonyi asambazze eby’ogerwa nga ababaka ba palamenti ab’omulundi guno bwebali ab’ekibogwe. Okusinziira ku Ssenyonyi, bonna abali mu Palamenti bagwanidde wabula obuzibu tebasobola kuyimirira ku kigambo kyabwe olw’okutiisibwatiisibwa n’okugulirirwa. Okwogera bino abadde akuba ttooki mu byayiseemu akaseera ak’omwaka omulamba nga atudde mu kifo kino.