Nabbanja akunze abakulembeze okubeera eky’okulabirako mu kulwanyisa obwavu
Ssabaminisita Robinah Nabbanja asoomozeza abakulembeze ba zi Disitulikiti ku mitendera egy'enjawulo okuba eky'okulabirako mu nteekateeka eziteereddwa gavumenti okuggya abantu mu bwavu. Ono agamba nti ekimu ku bizingamiza enteekateeka zino beebakulembeze okwesuulirayo ogwannagamba nga balowooza nti bbo balina kkola gwakalabaalaba mu nteekateeka ng'emyoga ne PDM.