NAZZIKUNO: Engeri gye balukamu omukeeka kwosa ekikapu
Atalumwangako ku Nsolosozi y'agamba omugeyi amukyaalidde nti tuulira awo ku kifugi. Naye gwe zaali zookezzaako bw'otuuka ewuwe akutuuza ku Mukeeka. Kyoka nga n'abasuubula mu katale ebintu byokukozesa ewaka batwalanga Kikapu naye ab'omulembe guno ba buveera okusinga olw'ebintu nga bino okugenda nga bibula. Mu Nazzikuno waffe olwaleero Ronald Ssenvuma atusakidde engeri gye balukamu omukeeka kwosa ekikapu.