Nazzikuno: Engoma yaakozesebwanga mu byampuliziganya
Erinnya oba ekigambo NGOMA oli bw'akiwulira alowooza kimu nti zikubwa ku mikolo abazinyi nebeesiba ebisenso nebatyabula amazima okujula okugamala mu biwato. Engoma eno yakozesebwa nga nyo ku lukalu lw’omuddugavu mu nsonga z’ebyempuliziganya nga tekinologiya w’amasimu n'emireeretu oba obuzindaalo nga tannaba kutuuka. Mu kyaasa ekyasooka, abakulu b’obusolya, ba Mayumba kkumi n'abalala Engoma y'empuliziganya eyakozesebwa nga okukungaanya abataka nga waliwo amawulire ge baayagalanga okubatuusako n'emikolo emirala mingi engoma eno weyeyambisibwanga. Kyokka ku mulembe guno batono abamanyi engoma eno bw'ereegebwa n'etuuka okuvaamu amaloboozi ago g'owulira.