NDA etandise okuzzaayo eddagala eribbibwa mu malwaliro ga gavumenti
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kubunyisa eddagala mu ggwanga ki National drug Authority kibakanye ne kaweefube w'okuddiza amalwaliro ga Gavumenti eddagala eyali lyabbibwayo nerisangibwa mu malwaliro g'obwannanyini n'amaduuka agatunda eddagala. Kino kiddiridde kkooti okuvaayo n'eragira eddagala lino liweebwe amalwaliro lisobole okuganyulwa abantu nga terinayonooneka.Kinajjukirwa nti ekitongole kino kizzenga kikola ebikwekweto ku babba eddagala lya Gavumenti era eriwerako nerikwatibwa wabula nga lingi ku lino libaddenga lyonooneke nga likyaterekeddwa ng'ebizibiti.