NIRA eyanukudde ku kwemulugunya kwa Gashumba n'abavandimwe banne
Alipoota ku kwemulugunya kwa bannyarwanda abannayuganda abeegattira mu kibiina ki Council for Bavandimwe nti basosolebwa bwekituuka ku kufuna endagamuntu ne pasipoota kwakubaganyiziddwako ebirowooza mu palamenti eyawamu ku nkomerero ya wiiki eno yadde nga abaakutwalayo baasigadde sibamativu.Bano abakulemberwa Frank Gashumba bagamba nti yadde alipoota yabuusizza amaaso ebintu bye beemulugunyako, balina essuubi nti ensonga yaabwe yatuuse mu lukiiko olukulu olw’eggwangaAb'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu okufuna ndagamuntu nabo baanukudde ku kwemulugunya kw'abantu bano