OBULUMBAGANYI BWA ADF: Ekyalo abantu bakidduse
Kitegerekese nga abantu ku kyalo ekyalumbiddwa e Kamwenge abasinga bwebaakidduseeko nga batya ebiyinza okuddirira . Abatono abagumye nebasigalako basabye gavumenti eboongrere obukuumi.Abantu kumi bebattiddwa ku kyalo Kitewuruzi mu Ggombolola ye Kamwenge mu disitulikiti ye Kamwenge mu kiro ekyakeeseza olunaku lweggulo. Abamu ku battiddwa emirambo gyabwe gyayokeddwa abateeberezebwa okuba abajambula ba UPDF negifuuka Muyonga.