Obungi bw’abantu e Luweero bweraliikirizza ab’ebyobulamu
Abakulembeze n’ab’eby’obulamu mu district y’e Luweero bagamba nti ky’ekiseera ng’eggwanga okutandika okulowooza ku butya bwetuyinza okuziyiza omuwendo gw’abantu ogw’eyongera ennyo nokubateekerateekera obulungi naddala mu by’obulamu nga awatali ekyo ebisera bya Uganda eby’omumaaso biri mu katyabaga. Okusinziira ku by’ava mu kubala abantu eby’omwaka oguwedde, abaana abali wansi w’emyaka 17 bebasinga obuungi ssi mu Luwero wokka wabula mu ggwanga lyonna, ekiteeka akazito eri abakola okubabezaawo, mpozi n’empeereza mu byobulamu.