Obuvune obuva mu mizannyo; abakugu bawabudde ku nzijanjaba y'abwo
Okufuna obuvune ky’ekimu ku bintu ebikyasinze okutawaanya bannabyamizannyo mu mizannyo egyenjawulo era nga abasinga tekibaleka ky’ekimu. Obuvune buno obumu buba bw’abulabe nnyo era nga abamu bubaviirako n’okufiirwa obulamu bw’abwe so nga n’abandi tebaddamu kulinnya mũ kisaawe kyonna.Kyokka wadde guli gutyo waliwo n’abazannyi abafuna obuvune nebajjanjabwa ate nebaddamu okuzannya obulungi.Kati omusasi waffe Sharifah Nambi atunuulidde obuvune obwenjawulo mu byanabyamizannyo na butya bwebuyinza okukwatibwamu si nga omuntu abeera abuifunye.