Okubunyisa amasannyalaze; ekungaanyizo ly’amasannyalaze mu Arua litongozedwa
Amyuka Omukulembeze w’eggwanga Jessica Alupo olwalweero agguddewo ekunganyizo ly’amasanyale eddala mu Kibuga Arua nga lino nalyo liri kitundutundu ku line ya Kole-Gulu-Nebbi-Arua eya Kilo Volts 132. Amakunganyizo g’amasanyalaze gano gatunuuliddwa okusitula eby’enfuna mu kitundu kino era Minisita w’amasanyalaze n’obugagga obw’ensibo Ruth Nankabirwa akowodde bamusiga nsimbi okutwala amakolero mu kitundu kya West Nile batondewo emirimu naddala mu bavubuka.