OKUKENDEEZA OBUBENJE: Gen. Katumba agamba baakukozesa byuma okugezesa abagoba
Minisita w'ebyentambula Gen. Edward Katumba Wamala alaze obwetaavu bw'okuteekawo amangu enkola ekozesa ebyuma bikali magezi okugezesa abantu abaagala okuvuga ebidduka. Katumba agamba nti enkola eno yakuyamba okumalawo emiwaatwa gyonna mu kusunsula abantu abasaanidde okuvuga ku makuba, okusobola okukendeeza oba okumalawo obubenje. Okwogera bino Katumba abadde alambula omulimu gw'okuzimba ekizimbe minisitule y'ebyentambula mweyagala okutuuza woofiisi zaayo ezikola ku pamitti z'okuvuga mmotoka.