Bannamawulire bakubiddwa abajaasi, ebyuma byonooneddwa, waliwo abamenyese
Abakulira ekitongole ky’amawulire ku Nation Media Group Uganda ekitwala NTV, Spark Tv n’olupapula lw’amawulire olwa Daily Monitor bawaliriziddwa okuyitayo bannamawulire b’emikutu gino ababadde baasindikiddwa okulondoola okulonda okubadde kugenda maaso mu Kawempe North.Kino kivudde ku ngeri ab’ebyokwerinda gyabadde babayigganyaamu era bangi bakubiddwa ne camera zebabadde bakozesa nebaziwamba ate endala nebazaasayassa ekitadde obulamu bwabwe mu mariga. Waliwo n’abadde bakwatiddwa wabula oluvannyuma bayimbuddwa kyokka camera zaabwe ab’ebyokwerinda nebasigala nga bakyaziwambye.