Sheikh Shaban Mubajje azzeemu okulayizibwa ku bwa Mufti
Sheikh Shaban Ramathan Mubajje azzeemu okulondebwa ku kisanja ekijja eky'obwa Mufuti wa Uganda wakati mu kuwakanyizibwa abasiraamu abamu.Olwaleero, Mubajje yawezezza emyaka 70, nga abamuwakanya kino kye basinze okwesibako kubanga gy'emyaka mu ssemateeka w'obusiraamu kw'abadde alina okuwummulira. Olunaku lw'eggulo waliwo abasiraamu bana abaakubye Mubajje mu mbuga z'amateeka nga baagala eby'okumulayiza biyimirizibwe. Wabula puliida wa Mubajje yavuddeyo omulamuzi amulaaliise nti tebageza nebalayiza omukulu ono kubanga ye ajja kubisazaamu mbagirawo.