Akalulu ka Kawempe North, akakiiko kaakedde kutambuza birondesa
Akakiiko k’eby’okulonda kasuze bukindaala nga keetekeratekeera akalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North akakubiddwa olunaku olwaleero. Ku ssaawa kkumi ez’okumaliiri emmotoka ezitwala obululu mu bifo eby'enjawulo awalonderwa zisimbudde ku tterekero ly'ak’akakiiko k’ebyokulonda e Banda. Kyokka newankubadde ebikozesebwa bbyo bikedde, okulonda mu bifo ebisinga kutandise esaawa zisusse mu emu eragirwa mu mateeka ge by’okulonda.