Okukwatira NUP bendera, okusunsulamu aba gav’t ez’ebitundu kutandise leero
Ekibiina ki NUP kitandise omutendera ogusooka ogw’okusunsulamu abaagala okukwatira ekibiina bendera mu kalulu kaabonna ak'okubaawo mu 2026. Bano batandikidde ku mutendera ogwa gavumenti ez’ebintundu era wiiki eno baakusunsula abo bokka abaagala okuvuganya ku bifo ebya Kampala n’oluvannyuma Wakiso egoberere. Kyokka wabaddewo akabuuza ku John Mary Ssebuufu naye atuula ku kakiiko akasunsula kyokka nga naye yesimbyewo mu kalulu akaawamu, abamu kyebalowooza nti kiyinza okukosa obwerufu wabula ekibiina kyanukudde n'ekigumya abavuganya nti talina waganda kutataaganya kakiiko kano nga kakola okusalawo.