OKULONDA E KAWEMPE: Akakiiko kaakufulumya enteekateeka wiiki ejja
Akakiiko k’ebyokulonda kategezeza nga bwekagenda okulangirira enttekatteka zokulonda kw'okujjuza ekifo kyo mubaka wa Kawempe North oluvanyuma lwa palamenti okubawandkira gyebuvuddeko. Akulira akakiiko kano omulamuzi Simon Byamukama bino abyogedde asisikanye banamawulire okubategeza butya omulimu gwokuzza obuggya enkalala z'abalonzi ogwatandika ku bbalaza ya wiiki eno bwegwakatambula.