OKULONDA MU NRM: Bannakibiina bakubiriziddwa okwetaba mu kw’ebyalo
NRM ekunze bannakibiina okujjumbira enteekateeka y’okulonda bannakibiina abeegwanyiza obukulembeze bw’ekibiina ku byalo kko nabo abeetaaga kkaadi y’ekibiina okwesimba ku bwa ssentebe bw’ebyalo mu kalulu akajja. Okusinziira ku ssaabawandiisi w’ekibiina kino Richard Todwong, enteekateeka eno yakubeerawo ku lwokubiri lwa wiiki ejja.