Okusengula Ab’e Bulambuli: Nabbanja agenze kwekwatiramu
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja atuuse e Mbale gy’agenda okusinziira okukola kunsonga z’okusengula abantu abakosebwa okuyigulukuka kw’ettaka e Bulambuli. Ssabaminsita atandise na kusisinkana bakulembeze ba disitulikiti ez’enjawulo ne basala amagezi ku ngeri gye bagenda okuyambamu abantu nga babasengula.