Ebbula ly’abalamuzi kiviirideko emisango okwetuuma mu kkooti e Mbarara
Kizuuliddwa ng’ebbula ly’abalamuzi bwekiviirideko emisango okwetuuma mu kkooti e Mbarara. Okusinziira ku batuuze, bategeezeza nga bwebasanga okusomoozebwa mukufuna obwenkanya. Amyuka Ssaabalamuzi wa Uganda Richard Buteera bano abagumizza, bwabadde aggulawo kkooti ejjulirwamu e Mbarara.