Henry Taremwa yasibwa n’abantu abakulu ku myaka 16
Waliwo omuvubuka eyasibwa ku yaka 17 n’amala emyaka 6 mu kkomera ly’abakulu alojja bye yayitamu. Kino kyaddirira munnamateeka we okukakasa kkooti nti yasibwa n’asussa ebbanga omuntu atannaweza myaka 18 gy’alina okumala ku limanda ate n’olwokusibwa n’abantu abakulu. Mu kiseera kino tamanyi w’akutandikira okutwala obulamu mu maaso kuba yagenda okusibwa mu 2018 nga yaakamala ebibuuzo bya S4 ate kati abayizi abayingira siniya eyookutaano bali ku nsoma empya.