E Nakasongola bafunye abasawo ku miruka
Okumala emyaka egisoba mu abiri, empereza y’ebyobulamu mu Uganda ebadde yeesigamye ku ba VHT abakola ng’abasawo abaasomerako ku byalo. Naye olw’obwetaavu bw’eby’obulamu n’omuwendo gw’abantu ogweyongera buli olukya, kireseewo omuwaatwa munene ddala mu buwereza bw’eby’obulamu mu ggwanga. Kati, gavumenti eriko amagezi g’esaze okunogera ekizibu kino eddagala ng’etongoza abasaqwo b’okumiruka beeyise Community Health Extension Workers oba CHEWs okuyambako mu kuziba emiwaatwa n’okunyweza ebyobulamu ebisookerwako. Abasawo bano batongozeddwa ateekeratekera ministry y’eby’obulamu Dr. Diana Atwine eggulo mu Nakaseke.