Okutaasa Martin Nsubuga Nabutono, Buddu ne Buwekula bategeka omupiira
Bannabuweekula baakwolekera Buddu ku Lwokutaano lwa wiki eno okwetaba mu mupiira ogwokusondera eyaliko omuzannyi wa ttiimu zombi Martin nsubuga Nabutono ssente z’obujanjabi.Nabutono yaweebwa ekitanda ku Roswell Hospital olw’ekirwadde ki Tetanus oluvannyuma lw’okufumitibwa omusumaali era nga yeetaaga obukadde bubiri buli lunaku okubeezaawo obulamu bwe mu ddwaliro gy’ali.Nabutono y’omu ku bazannyi abaawangulira Buddu ekikopo ky’amasaza sizoni ewedde kyokka mu sizoni ya 2022 ne 2023 yali ku Buweekula.