Okutaasa obutonde:Buganda esitukidde mu kaweefube
Obwakabaka bwa Buganda bulina webutuuse mu kaweefube w’okutaasa obutonde nga buyita mu kusimba emiti n’okugigabira abantu bagyesimbire Embuga yessaza lya Busiro kyekimu ku bifo ebikyuukidde ddala olwakaweefube ono eyatandika n’enteekateeka y’okusimba emiti buli mwaka ku lunaku olwatongozebwa nga lwa ssaza lino.