OKUTAMBUZA EMBWA: Abategesi baagala ebikujjuko bifuulibwe bya bulambuzi
Abantu balina omukwano gw’embwa ogubatuusa n’okuzijjanjabira ddala ng’abantu. Waliwo gwe tusobodde okwogerako naye nga yatuuka n’okugisaasaanyizako emitwalo kyenda mu etaano oluvannyuma lw’okukizuula nga embwa ye yalwala kkansa. Embwa eno agamba yagigula obukadde obuwera 4 okuva mu ggwanga lya Germany. Okwogerako n’ono tumusanze ku kikujjuko ky’okutambuza embwa oba dog walk festival ekitegekeddwa mu kibuga Kampala. Abategesi b’ebivvulu bino baagala bifuulibwe ekyobulambuzi.