OKUTULUGUNYA ABASAJJA: Atanansi Ssemuju yasulanga ku miggo
E Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso gyetusanze Atanansi Ssemuju alojja ejjoogo lya mukazi we, Annet Namubiru olw’okumufuula akagoma ng’amukuba buli lukedde n’ejjoogo erya buli kika eddala lingi. Mbu ono teyakoma okwo, yabuzaawo n’abaana babwe basatu n’abakukulira gy’atamanyi kati ebbanga kumpi lya mwaka mulamba, ekintu ekimusuza akukunadde nga lumonde mu kikata. Ono ayagala ab’obuyinza bamuyambe asobole okufuna abaana be nti kubanga mukyala we ssi wabuvunaanyizibwa kimala okubamulekera.