Okutunda Ekifaananyi Kya Uganda: Gavumenti egenze mu liigi ya Bungereza
Ministule y’ebulambuzi mu ggwanga egamba nti yetaaga obuwumbu mukaaga n’obukadde lunana nga zino za kweyambisa okutunda ekifananyi ky’eggwanga ebweru n’okutumbula eby’obulambuzi. Ku ssente zino kuliko n’okunoonya ttiimu y’omupiira mu liigi y’e Bungereza oba Premier league Uganda kw'egenda okulangira ebyobulambuzi byabyo era nga bano batunuulidde nnyo Crystal Palace. Minsitry era nti yakuteeka nnyo essira ku kutunda abajulizi ba Uganda okwetoloola ensi, olwo buli June abalambuzi nate bafune ensonga ebayiwa kuno okuleetera eggwanga lyattu ku nsimbi.