OKWONGEZAAYO OMUGGALO: Ab’e Mubende bakukkuluma, bagamba babadde beefubyeko
Abantu abawangalira mu distulikiti y’e Mubende sibasanyufu ne gavumenti olw’okwongeezaayo omuggalo ogwatekebwa ku distulikiti eno nga bagamba nti kibadde tekyetaagisa kubanga bakoze ekisoboka okutangira okusasaana kw’ekirwadde kino. Kyokka y’e RDC wa distulikiti eno Rosemary Byabashaija eky’okwongezaayo omuggalo akiwagidde wabula n’asaba gavumenti eyongere ku mmere eyokuyamba ku bantu abakoseddwa omuggalo