OLUTINDO LWOLEKEDDE OKUGWAMU: Abatuuze lwe bassaawo e Ntoroko lwongedde okunafuwa
Abamu ku baakosebwa amataba mu bitundu bye Ntoroko mu 2019 bakyasanga okusomoozebwa okwamanyi olwamakubo. Waliwo n'awamu bannansi webeekolera olutindo olw'okubooga kw'ennyanja Albert wabula nga lwolekedde okugwamu. Olutindo luno luli ku kyewandiyise ennyanya eyatondebwawo amataba wewaawo nga kati emaamiddwa omuddo.