OMUBAKA AKAMBA ALIWA?: Poliisi egamba terina by’eyinza kwogera mu kiseera kino
N’okutuusa kati ebikwatagana ku mubaka wa Busiki County Paul Akamba tebinamanyika.Akamba yakwatibwa ku lw'okutaano wabweru wa kkooti ewozesa abalyake oluvannyuma lwokukkirizibwa okweyimirirwa.Bannamateeka be bategeezezza kkooti nga bwebatamanyi gyali , so nga ne poliisi egamba terina bingi byesobola kwogera mu kiseera kino.