Omubaka Paul Nsubuga ayogedde ku kisanja kye ekisoose mu palamenti
Omubaka wa Busiro North Paul Nsubuga, y'omu ku babaka abeegatta ku palamenti eyekumineemu nga bakyali bamusaayimuto. Kyokka ono atubuulidde asanze okusomoozebwa okwenjawulo olw'emisango egyamuggulwako beyavuganya abaali bawakanya obuwanguzi bwe. Ono agamba emisango gino gyateeteeganya nnyo obuweereza bwe eri abantu baakiikirira so ngera yalina okwewola omudidi gwensimbi okusobola okugiwoza. Juma Kiirya awayizaamu n'omubaka ono natukubira ttooki mu ngeri ekisanja kye ekisooka gyekitambuddemu.