Omubaka wa munisipali y'e Mityana, Francis Zaake, asiibuludde abasiraamu mu kitundu kye
Mu buufu bwebumu omubaka wa munisipali ye mityana Francis Zaake naye asiibuludde abasiraamu mu kitundu kye bwabawadde ebintu ebyenjawulo oluvannyuma lw'okusaala Juma ku Muzikiti omukulu ogwa Masjjid Jamia. Zaake asinzidde wano n'asaba gavumenti eyimbule abasiraamu abali mu nkomyo ku misango gy'ebyobufuzi naddala ng'akalulu kabonna aka 2026 kabinabinda nabo basobole okukeetabamu.