Omulabirizi w'e Mbale asabye abali mu nsozi za Elgon okuva mu bifo by'akatyabaga
Omulabirizi w'obulabirizi bw'e Mbale John Wilson Nandala asabye abantu abali mu bifo ebyakatyabaga mu nsonga za Elgono okubyamuka nga bukyali basobole okutaasa obulamu. Nandala era avumiridde n'ekyabantu abagufudde omuze okuzimba ku mbalama z'emigga mu kitundu kino Omulabirizi okwogera bino abadde mu kusaba okuyindidde ku Kkanisa ya St. John Nakaloek gyatongolezza pulojekiti ez'enjawulo