Omulabirizi wa West Buganda omujja atuuziddwa
Omukulembeze w'egganga Yoweri Museveni asabye abakulisitaayo okwettanira enteekateeka z'a gavumenti eziteereddwawo okwekulaakulanya basobole okweyimirizaawo. Museveni obubaka buno abutisse minisita w'ebyamasanyalaze ,Ruth Nankabirwa, amukiikiridde ku mukolo gw'okutuuza Rev Canon Gaster Nsereko ng'omulabirizi wa West Buganda Omujja. Omukolo gwokutuusa Nsereko gukoleddwa Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda Stephen Kaziimba Mugalu.